2 Chronicles 18:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zedekiya, mutabani wa Kenaana n'ayambuka n'akuba Mikaaya oluyi mu mba nga bw'agamba nti: “Omwoyo gw'Omukama gwandeseewo gutya ne gujja gugamba ggwe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera okumpi ne Mikaaya we yali n’amukuba oluyi mu maaso, n’amubuuza nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko wa okwogera naawe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zeddekiya, mutabani wa Kenaana, n'asembera n'amukuba Mikaaya ku tama, n'amugamba nti, “Omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okwogera naawe?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Zeddeekiya, mutabani wa Kenaana, n'asemberera Mikaaya, n'amukuba oluyi ku luba, n'amugamba nti: “Mwoyo wa Mukama yampitako atya, n'ayogera naawe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n'asembera n'amukuba Mikaaya ku matama, n'ayogera nti Omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okwogera naawe.