2 Chronicles 18:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugamba nti: ‘Kabaka agambye nti: Omusajja ono mumuteeke mu kkomera, mumukuumire ku mugaati na mazzi byokka okutuusa nga nkomyeewo mirembe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, Omuntu ono mumuteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono n’amazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo mirembe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mubagambe nti, ‘kabaka alagidde nti, Olusajja luno muluteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono n'amazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo emirembe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mubagambe nti: ‘Kabaka alagidde nti akasajja ako mukateeke mu kkomera. Emmere n'amazzi mukawe mpa we bizira, okutuusa nga nkomyewo mirembe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mwogere nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Olusajja luno muluteeke mu kkomera mululiisenga emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okulaba ennaku, okutuusa lwe ndikomawo emirembe.