2 Chronicles 18:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mikaaya n'agamba nti: “Bw'okomangawo emirembe, mpozzi ng'Omukama teyayogeredde mu nze.” Awo n'agamba nti: “Abantu mwenna, muwulire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo mirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze,” ate n’ayongerako na kino nti, “Mmwe mwenna, mwekuume ebigambo byange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mikaaya n'agamba nti, “Bw'olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze.” N'ayongerako nti, “Muwulire, mmwe abantu mwenna, kye njogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mikaaya n'agamba nti: “Bw'olikomawo emirembe, nga Mukama tayogeredde mu nze.” N'ayongerako nti: “Muwulire, abantu mwenna, kye njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mikaaya n'ayogera nti Okukomawo bw'olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze. N'ayogera nti Muwulire, mmwe amawanga mwenna.