2 Chronicles 18:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akabu kabaka wa Yisirayeli n'abuuza Yosafati nti: “Onoogenda nange tulwanyise Ramoti Gileyaadi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akabu kabaka wa Isirayiri n’abuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi?” Yekosafaati n’addamu nti, “Ky’oli kye ndi, era n’abantu bo be bantu bange, tujja kukwegattako mu lutalo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akabu kabaka wa Isiraeri n'abuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi? ” Yekosafaati n'addamu nti, “Nze naawe ffe bamu, abantu bange be bamu n'ababo. Tujja ku kwegatako mu lutalo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahabu Kabaka wa Yisirayeli n'abuuza Yehosafaati Kabaka wa Buyudaaya nti: “Onoogenda nange okulumba Ramoti Gileyaadi?” Yehosafaati n'addamu nti: “Nze naawe ffe bamu. Abantu bange be bamu n'ababo. Tujja kuba naawe mu lutalo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akabu kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati kabaka wa Yuda nti Onoogenda nange e Lamosugireyaadi? Awo n'amuddamu nti Nze ninga ggwe bw'oli, n'abantu bange ng'abantu bo; era (tunaabanga) wamu naawe mu ntalo ezo.