2 Chronicles 18:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Aramu yali alagidde abagabe be ab'ebigaali nti: “Temulumba mulala yenna, muto oba mukulu, wabula kabaka wa Yisirayeli yekka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi ab’amagaali ge nti, “Temulwanagananga na muntu yenna, oba wa kitiibwa oba si wa kitiibwa, okuggyako kabaka wa Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaduumizi b'amagaali ge nti, “Temulwanyisa muntu mulala yenna, omuto oba omukulu, wabula kabaka wa Isiraeri yekka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Siriya yali alagidde abaduumizi b'amagaali ge abaali naye nti: “Temulwanyisa muntu mulala yenna, omuto oba omukulu, wabula kabaka wa Yisirayeli yekka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaami b'amagaali ge ng'ayogera nti Temulwana na bato newakubadde abakulu, wabula kabaka wa Isiraeri yekka.

Recommended Reading