2 Chronicles 18:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagabe b'ebigaali bwe baalaba Yosafati ne bateebereza nti: “Oyo ye kabaka wa Yisirayeli.” Ne bakyukira gy'ali bamulwanyise. Yosafati bwe yaleekaana Omukama n'amuyamba. Katonda n'abawugula we yali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaduumizi ab’amagaali bwe balaba Yekosafaati, ne boogera nti, “Oyo ye kabaka wa Isirayiri.” Ne bakyuka ne bamulumba, naye Yekosafaati n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka, Mukama n’amubeera, era Katonda n’abaziyiza, n’okubaggyawo n’abaggyawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka abaduumizi b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne bagamba nti, “Oyo ye kabaka wa Isiraeri.” Ne bakyuka ne bamulumba, naye Yekosafaati n'alaajana nnyo, Mukama n'amuyamba, Katonda n'abamuggyako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abaduumizi b'amagaali bwe baalaba Yehosafaati, ne bagamba nti: “Ono ye kabaka wa Yisirayeli.” Ne bakyuka okumulwanyisa. Kyokka Yehosafaati n'alaajana nnyo, Mukama Katonda n'amuyamba, n'abawugula ne bamuvaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne boogera nti Mazima ye kabaka wa Isiraeri; kyebaava bakyama okulwana naye: naye Yekosafaati n'ayogerera waggulu, Mukama n'amuyamba; Katonda n'abamuggyako.