2 Chronicles 18:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omusajja omu, ng'amaze galeega musaale, yalasa kabaka wa Yisirayeli wakati w'obuyungiro bw'ekizibawo eky'oku kifuba. Kabaka n'agamba omugoba w'ekigaali nti: “Kyusa ekigaali onzigye mu lutalo kubanga banfumise.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omu ku basajja n’amala ganaanuula omutego gwe, n’alasa kabaka wa Isirayiri mu kifo ekimu ebyambalo bye eby’olutalo we byegattira. Kabaka n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa onzigye mu lutalo kubanga nfumitiddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omusajja omu n'amala ganaanuula omutego ggwe, n'alasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby'ebyuma we bigattira: kabaka n'agamba omugoba w'eggaali lye nti, “Kyusa eggaali, onzigye mu lutalo, kubanga nfumitiddwa nnyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ne wabaawo omusajja omu eyasika omutego, n'amala galasa akasaale, ne kakwasa kabaka wa Yisirayeli, ekyambalo kye eky'ekyuma we kigattira mu kifuba. Kabaka n'agamba omugoba w'eggaali lye nti: “Kyusa eggaali, onzigye mu lutalo, kubanga banfumise.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wabaawo omuntu eyanaanuula omutego gwe nga tagenderedde, n'alasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby'ebyuma we bigattira: kyeyava agamba omugoba w'eggali lye nti Kyusa omukono gwo onziye mu ggye; kubanga nfumitiddwa nnyo.