2 Chronicles 18:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olutalo ne luyinda olunaku lwonna; kabaka wa Yisirayeli ng'awaniriddwa mu kigaali kye ng'atunuulidde Abaaramu okutuusa akawungeezi. Awo ng'enjuba egwa n'afa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olutalo ne lukanya olunaku lwonna, kyokka kabaka wa Isirayiri ne yeewaliriza okusigala mu gaali lye ng’atunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ng’egwa n’afa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olutalo ne lunyinyittira nnyo ku lunaku olwo, kabaka wa Isiraeri ne yeewaliriza okusigala mu ggaali lye ng'atunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ng'egwa n'afa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olutalo bwe lwanyinnyittira ennyo ku lunaku olwo, kabaka wa Yisirayeli ne yeesigaamiriza mu ggaali lye okwolekera Abassiriya okutuusa olweggulo. Enjuba bwe yali ng'egwa, n'akisa omukono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olutalo ne lweyongera ku lunaku olwo: naye kabaka wa Isiraeri ne yeekakaabiriza mu ggaali lye okulwana n'Abasuuli, okutuusa akawungeezi: awo enjuba bwe yali ng'egwa n'afa.