2 Chronicles 18:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosafati n'addamu nti: “Nze ggwe, abantu bange be bantu bo, abeebagazi bange be beebagazi bo; tujja kukwegattako mu lutalo.” Naye Yosafati n'agamba kabaka wa Yisirayeli nti: “Nkwegayiridde, sooka weebuuze ku Mukama, olabe ky'agamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yekosafaati n’alabula kabaka wa Isirayiri nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehosafaati era n'agamba Kabaka wa Yisirayeli nti: “Nsaba omale kwebuuza ku Mukama, owulire ky'agamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nkwegayiridde, buuza ekigambo kya Mukama leero.