2 Chronicles 18:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli n'akuŋŋaanya abalanzi, abasajja ebikumi bina, n'ababuuza nti: “Ŋŋende nnwanyise Ramoti-Gileyaadi oba mbiveeko?” Ne baanukula nti: “Genda, kubanga Omukama ajja kukiwaayo mu mikono gya kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi bonna awamu; baali abasajja ebikumi bina, n’ababuuza nti, “Tugende tulumbe Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo?” Ne bamuddamu nti, “Tugende, kubanga Mukama anaakigabula mu mukono gwa kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi, abasajja bina (400), n'ababuuza nti, “Tulumbe Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo? ” Ne baddamu nti, “Genda okirumbe. Katonda ajja kukikuwa okiwangule.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka wa Yisirayeli n'akuŋŋaanya abalanzi ebikumi bina, n'ababuuza nti: “Tulumbe Ramoti Gileyaadi, oba ndekeyo?” Ne baddamu nti: “Genda okirumbe. Katonda ajja kukikuwa okiwangule.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi abasajja ebikumi bina, n'abagamba nti Tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? Ne boogera nti Yambuka; kubanga Katonda alikigabula mu mukono gwa kabaka.