2 Chronicles 18:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yosafati nti: “Wasigaddewo omusajja omu mwe tuyinza okuyita okwebuuza ku Mukama; naye nze namukyawa, kubanga talanga kirungi ku nze, wabula kibi. Ye Mikaaya, mutabani wa Yimula.” Yosafati n'amugamba nti: “Kabaka teyandiyogedde bw'atyo!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Waliyo omusajja omulala gwe tuyinza okwebuuzaako ku Mukama, ye Mikaaya mutabani wa Imula, naye namukyawa kubanga tandagulako birungi, wabula ebibi ebyereere.” Yekosafaati n’ayogera nti, “Kabaka teyandiyogedde bw’atyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka wa Isiraeri n'addamu Yekosafaati nti, “Waliwo omusajja omulala omu ayinza okutubuuliza Mukama: oyo ye Mikaaya, mutabani wa Imula, naye n'amukyawa; kubanga tandagulangako birungi, wabula ebibi ebyereere.” Yekosafaati n'agamba nti, “Kabaka, toyogera bw'otyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Wakyaliwo omusajja omu gwe tuyinza okuyitamu okwebuuza ku Mukama. Oyo ye Mikaaya, mutabani wa Yimula. Wabula simwagala, kubanga talangangako birungi ku nze, wabula ebibi ebyereere.” Yehosafaati n'agamba nti: “Kabaka, toyogera bw'otyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Waliwo nate omusajja omu gwe tuyinza okubuulizaamu Mukama: naye mmukyawa; kubanga tandagulangako birungi wabula ebibi ebyereere; oyo ye Mikaaya mutabani wa Imula. Yekosafaati n'ayogera nti Kabaka aleme okwogera bw'atyo.