2 Chronicles 18:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli ne Yosafati kabaka wa Yuda, buli omu yali atudde ku nnamulondo ye nga bayambadde emitanvuuwa gy'obwakabaka, mu gguuliro okumpi n'omuzigo gwa wankaaki wa Samariya, ng'abalanzi bonna bali awo mu maaso gaabwe balanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu gguuliro ku mulyango gwa wankaaki w’e Samaliya, nga bambadde ebyambalo byabwe, nga ne bannabbi bonna balagulira mu maaso gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda, nga bambadde ebyambalo byabwe eby'obwakabaka, ne batuula buli muntu ku ntebe ye, mu gguliro, ku mulyango gwa wankaaki ogwa Samaliya. Bannabbi bonna ne balagulira mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Yisirayeli ne Yehosafaati Kabaka wa Buyudaaya, nga bambadde ebyambalo byabwe eby'obwakabaka, ne batuula buli omu ku ntebe ye, mu mbuga eri okumpi n'omulyango omunene ogwa Samariya. Abalanzi bonna ne balanga mu maaso gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula buli muntu ku ntebe ye nga bambadde ebyambalo byabwe, nga batudde mu mbuga eri ku mulyango gwa wankaaki w'e Samaliya; bannabbi bonna ne balagula mu maaso gaabwe.