2 Chronicles 19:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku buli musango gwonna baganda bammwe abali mu bibuga gwe babatuusangako, gubeere gwa kuyiwa musaayi, oba ogw'engeri yonna ey'okumenya etteeka, ekiragiro, ennamula oba empisa, mubabuulirire baleme kuzza musango ew'Omukama, sikulwa ng'obusungu bwe bujja ku mmwe ne ku baganda bammwe; mukolanga mutyo, lwe mutalizza musango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe wanaabangawo ensonga evudde eri baganda bammwe okuva mu bibuga byabwe, ng’ekwata ku kuyiwa omusaayi, oba ku nsonga endala yonna ekwata ku kiragiro, ku mateeka oba ku biragiro, munaabalabulanga obutayonoona Mukama, obusungu bwe muleme okubatuukako mmwe ne baganda bammwe. Bwe mutyo bwe munaakolanga muleme okubaako omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baganda bammwe abali mu bibuga byabwe, bwe banaaleetanga gye muli emisango oba gy'abutemu oba gy'akumenya mateeka oba biragiro oba kusobya ebibalagirwa, mubalabulenga, baleme okunyiiza Mukama, sikulwa nga abasunguwalira mmwe ne baganda bammwe abo. Mukolenga bwe mutyo, muleme kubaako musango.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baganda bammwe ababeera mu bibuga byabwe, bwe babaleeteranga emisango oba egy'obutemu, oba egy'okumenya amateeka oba ebiragiro oba okusobya ebibalagirwa byonna, mubalabulenga, baleme okunyiiza Mukama, sikulwa nga mmwe ne baganda bammwe abo, Mukama abasunguwalira. Mukolenga bwe mutyo, muleme kubaako musango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era baganda bammwe abali mu bibuga byabwe bwe banaaleetanga gye muli okukaayana kwonna, eruuyi omusaayi n'eruuyi omusaayi, eruuyi etteeka n'eruuyi ekiragiro, eruuyi ebyakuutirwa n'eruuyi emisango, munaabalabulanga baleme okuzza omusango eri Mukama, obusungu ne bujja bwe butyo ku mmwe ne ku baganda bammwe: mukolenga bwe mutyo obutabaako musango.