2 Chronicles 19:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amariya kabona y'anaabakuliranga mu byonna ebidda ku Mukama; ate Zebadiya mutabani wa Yisimayeli, omukulu w'ekika kya Yuda, y'anaabakuliranga mu byonna ebidda ku kuweereza kabaka; Abaleevi bajja kubeerawo ng'abaami bammwe. Mubeere banywevu mu bye mukola, n'Omukama abeere n'abo abakola ebirungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era Amaliya kabona asinga obukulu y’anaababeerangako n’obuvunaanyizibwa mu nsonga zonna eza Mukama, ate Zebadiya mutabani wa Isimayiri omukulu ow’ekika kya Yuda ye n’avunaanyizibwanga mu nsonga zonna eza kabaka, era n’Abaleevi banaaweerezanga ng’abaami mu maaso gammwe. Mube n’obuvumu, era Mukama abeere n’abo abakola obutuukirivu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, Amaliya kabona omukulu yanavunaanyizibwanga ku nsonga zonna eza Mukama, Zebadiya mutabani wa Isimaeri, omukulu mu kika kya Yuda yanavunaanyizibwanga ensonga zonna eza kabaka, n'Abaleevi banaaweerezanga nammwe. Mukole n'obuvumu era Mukama abeere n'abo abakola ebituufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amariya Ssaabakabona, ye anaabalabiriranga mu ebyo byonna ebifa ku Mukama. Zebadiya mutabani wa Yisimayeli, omukulu w'ennyumba ya Yuda, ye anaabalabiriranga mu byonna ebifa ku kabaka. Abaleevi be banaalabanga nti ebisaliddwawo bituukirizibwa. Mube n'obuvumu, mukole, era Mukama ayambenga abakola ebituufu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, Amaliya kabona omukulu yabafuga mu bigambo byonna ebya Mukama; ne Zebadiya mutabani wa Isimaeri, omukulu w'ennyumba ya Yuda, mu bigambo byonna ebya kabaka: era n'Abaleevi banaabanga baami mu maaso gammwe. Mube n'amaanyi mukole, era Mukama ayambenga abakozi b'obulungi.