2 Chronicles 19:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yewu omulabi, mutabani wa Kanani n'ajja okumusisinkana, n'agamba kabaka nti: “Oyamba otya ababi? Oyagala otya abo abatayagala Mukama? Olw'ekyo obusungu bw'Omukama bukujjidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeeku, Omulabi, mutabani wa Kanani n’agenda okumusisinkana, n’agamba Yekosafaati nti, “Kituufu ggwe okuyamba ababi, ate n’okukolagana n’abo abakyawa Mukama? Olw’ekikolwa ekyo, obusungu bwa Mukama kyebuvudde bukubuubukirako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nnabbi Yeeku, mutabani wa kanani, n'afuluma okusisinkana kabaka Yekosafaati, n'amugamba nti, “Kituufu ggwe okuyamba ababi, ate n'okolagana n'abo abakyawa Mukama? Olw'ekikolwa ekyo Katonda akusunguwalidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulanzi Yehu, mutabani wa Hanani n'avaayo okusisinkana Kabaka Yehosafaati, n'amugamba nti: “Kisaanye ggwe okuyamba ababi, n'okwagala abakyawa Mukama? Olw'ekikolwa ekyo, Katonda akusunguwalidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yeeku mutabani wa Kanani omulabi n'afuluma okumusisinkana n'agamba kabaka Yekosafaati nti Kirungi ggwe okuyamba ababi n'obaagala abo abakyawa Mukama? olw'ekigambo ekyo obusungu bukuliko obuva mu maaso ga Mukama.