2 Chronicles 19:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka mu ggwe mwasangibwamu ekirungi, kubanga ensi wagimalamu empagi za Asera, n'omutima gwo n'ogussa ku kunoonya Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka mu ggwe mulimu ebirungi, kubanga wazikiriza Baaserosi n’obaggya mu nsi, n’omalirira mu mutima gwo okunoonya Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mu ggwe mukyalimu ebirungi: kubanga waggyawo ebifaananyi bya Asera mu nsi yo, n'omalirira mu mutima gwo okunoonya Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka mu ggwe, era mukyalimu ebirungi. Kubanga waggyawo ebifaananyi bya lubaale Asera mu nsi yo, era n'ofuba okukola ebyo Katonda by'ayagala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mu ggwe mulabise ebirungi, kubanga waggyawo Baaserosi mu nsi, n'okakasa omutima gwo okunoonya Katonda.