2 Chronicles 19:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakomereza abalamuzi nti: “Mwekkaanye kye mukola, kubanga okulamula temukukolera muntu wabula Mukama, oyo ali nammwe nga mubadde mulamula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abategeeza nti, “Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bw’abantu wabula ku bwa Mukama, abeera nammwe buli bwe musala omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agamba abalamuzi nti, “Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bwa bantu wabula ku bwa Mukama, abeera awamu nammwe nga musala emisango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akuutira abalamuzi abo nti: “Mwetegereze kye mukola, kubanga temulamulira ku buyinza bwa bantu, wabula mulamulira ku bwa Mukama, abeera awamu nammwe nga musala emisango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agamba abalamuzi nti Mulowooze bye mukola: kubanga temulamulira bantu wabula Mukama; era ye ali wamu nammwe mu kusala emisango.