2 Chronicles 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutya Omukama kubabeeremu; mulamule na bwegendereza, kubanga Omukama Katonda waffe taliimu butali bwenkanya, kusaliriza na kulya nguzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo entiisa ya Mukama ebeere mu mmwe, musale omusango nga mugwekanyizza bulungi, kubanga Mukama Katonda waffe takkiriziganya na butali butuukirivu, era tewali kusosola mu bantu wadde okulya enguzi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno mutye Mukama, musseeko omwoyo ku bye mukola, kubanga Katonda waffe tagumikiriza kikyamya nsonga, newaankubadde okusaliriza, wadde okulya enguzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno mutye Mukama, musseeko omwoyo ku bye mukola, kubanga Mukama Katonda waffe tagumiikiriza kukyamya nsonga, newaakubadde okusaliriza, wadde okulya enguzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno entiisa ya Mukama ebeere ku mmwe; mwekuume mukole bwe mutyo: kubanga tewali butali butuukirivu eri Mukama Katonda waffe newakubadde okusosola mu bantu newakubadde okulya enguzi.