2 Chronicles 19:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abalagira ng'agamba nti: “Muweereze Omukama mu kutya, mu bwesigwa ate n'omutima ogwemalizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abakuutira ng’agamba nti, “Mukole nga mutya Mukama, n’obwesigwa era n’omutima gumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'abakuutira ng'agamba nti, “Mukole nga mutya Mukama n'obwesigwa era n'omutima gumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'abakuutira ng'agamba nti: “Musaana mukole omulimu gwammwe nga mussaamu Mukama ekitiibwa, nga muli beesigwa, era nga mussaako nnyo omwoyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'abakuutira ng'ayogera nti Bwe mutyo bwe muba mukola mu ntiisa ya Mukama n'obwesigwa era n'omutima ogwatuukirira.