2 Chronicles 2:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni yakunga abasajja emitwalo musanvu abeetissi, n'emitwalo munaana ab'okwasa amayinja mu nsozi, ne bannampala enkumi ssatu mu lukaaga ab'okubabeerako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani n’awa ebiragiro okuzimbira erinnya lya Mukama eyeekaalu, ate naye okwezimbira olubiri olwa kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sulemaani n'ateekateeka okuzimbira Mukama ennyumba, ate naye okwezimbira olubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Solomooni n'ateekateeka okuzimba Essinzizo ery'okusinzizangamu Mukama, era n'okwezimbira olubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani n'ayagala okuzimbira erinnya lya Mukama ennyumba, n'ennyumba y'obwakabaka bwe.