2 Chronicles 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuramu kabaka w'e Tiiro n'awandiikira Solomoni, n'amugamba nti: “Kubanga Omukama yayagala abantu be kyeyava akuwa obeere kabaka waabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, ndiwa abaweereza bo, abasajja ababazzi, lita ez’eŋŋaano ense emitwalo amakumi ana mu ena, ne lita eza sayiri, emitwalo amakumi ana mu ena, n’ebita eby’omwenge emitwalo ebiri, n’ebita eby’amafuta ag’omuzeeyituuni emitwalo ebiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nja kuwa basajja bo abatema emiti, ebigero eby'eŋŋaano empuule emitwalo ebiri (20,000) n'ebigero ebya sayiri emitwalo ebiri (20,000), n'ebita eby'omwenge gw'emizabbibu emitwalo ebiri (20,000) n'ebita eby'amafuta ag'Omuzeyituuni emitwalo ebiri (20,000).”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Basajja bo abatema emiti, nja kubafunira kilo z'eŋŋaano emitwalo ebiri, kilo za bbaale emitwalo ebiri, lita z'omwenge gw'emizabbibu emitwalo ebiri, ne lita z'omuzigo emitwalo ebiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, ndiwa abaddu bo, ababazzi abatema emiti, ebigero eby'eŋŋaano empuule obukumi bubiri, n'ebigero ebya sayiri obukumi bubiri, n'ebita eby'omwenge obukumi bubiri, n'ebita eby'amafuta obukumi bubiri.