2 Chronicles 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuramu n'ayongerako nti: “Omukama, Katonda wa Yisirayeli agulumizibwe, eyakola eggulu n'ensi, eyawa Dawudi omwana omugezi, amanyi, ategeera era omukalabakalaba azimbire Omukama ennyumba, naye yeezimbire olubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kulamu n’addamu ebbaluwa Sulemaani gye yamuweereza ng’agamba nti, “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kulamu kabaka w'e Ttuulo n'awandiikira Sulemaani ebbaluwa emuddamu ng'egamba nti, “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hiraamu kabaka w'e Tiiro n'awandiikira Solomooni ebbaluwa emuddamu ng'egamba nti: “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula Kabaka waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kulamu kabaka w’e Ttuulo n'addamu ng'awandiika ebbaluwa n'agiweereza Sulemaani, nti Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyeyava akufuula kabaka waabwe.