2 Chronicles 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkuweerezza Kuramu-Abi, omusajja omugezi, omukugu era omukalabakalaba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayongerako na kino nti, “ Mukama Katonda wa Isirayiri eyakola eggulu n’ensi, yeebazibwe, kubanga awadde kabaka Dawudi omwana omutegeevu, alina okutegeera n’okwawula ebirungi n’ebibi, agenda okuzimbira Mukama eyeekaalu, n’okwezimbira olubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe, eyatonda eggulu n'ensi, awadde Dawudi kabaka omwana omutegeevu, alina amagezi n'okumanya, ateeseteese okuzimbira Mukama ennyumba, n'okwezimbira olubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wa Yisirayeli agulumizibwe. Omutonzi w'eggulu n'ensi, awadde Kabaka Dawudi omwana omutegeevu era alina amagezi n'okumanya, era kaakano ateeseteese okuzimbira Mukama Essinzizo, n'okwezimbira olubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Kulamu n'ayogera nti Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe eyatonda eggulu n'ensi, awadde Dawudi kabaka omwana omutegeevu, eyaweebwa amagezi n'okumanya, agenda okuzimbira Mukama ennyumba n'okuzimbira obwakabaka bwe ennyumba.