2 Chronicles 2:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mutabani w'omukazi mu bawala ba Daani, ye kitaawe yali ava mu Tiiro. Mukugu mu bya zaabu, ebya ffeeza, eby'ekikomo, eby'ekyuma, eby'amayinja n'eby'emiti; era mukugu mu by'engoye eza kakobe, eza bbululu, emmyufu, n'engoye ez'obufumbo. Mukugu mu mirimu gyonna egy'okwola; asobola n'okutetenkanya buli kya kuyiiya kyonna. Ajja kukola n'abakozi bo era n'abakozi ba mukama wange Dawudi, kitaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nkuweereza Kulamu omusajja omumanyirivu, era alina okutegeera n’obumanyirivu bungi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale Kaakano nno nkuweereza omusajja omumanyirivu ayitibwa Kulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nkuweerezza omuntu omugezi ayitibwa Huramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaakano nno mpeerezza omusajja ow'amagezi eyaweebwa okutegeera, owa Kulamu kitange,