2 Chronicles 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eŋŋano, sayiri, omuzigo, n'evviini mukama wange by'asuubizza, abiweereze abaweereza be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne nnyina y’omu ku bazzukulu ba Ddaani, nga ne kitaawe musajja w’e Ttuulo. Yatendekebwa mu kuweesa zaabu n’effeeza, n’ebikomo n’ebyuma n’okutema amayinja era nga mubazzi, ate n’okuluka engoye eza kakobe, n’eza bbululu, n’entwakaavu, n’eza bafuta. Era alina obumanyirivu mu kwola enjola ez’engeri zonna, era ayinza okuyiiya engeri yonna ey’okukolamu ekintu kyonna ekimuweereddwa. Y’anaakolanga n’abaweesi bo n’aba mukama wange Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnyina y'omu ku bazzukulu ba Ddaani, ne kitaawe yali mutuuze w'e Ttuulo. Mumanyirivu mu kukola omulimu ogwa zaabu, ogwa ffeeza, ogw'ebikomo, ogw'ebyuma, ogw'amayinja, ogw'emiti, ogw'engoye ez'effulungu, eza kaniki, eza bafuta ennungi ne z'engoye entwakaavu. Era mumanyirivu mu kwola enjola ez'engeri zonna, era asobola okuyiiya engeri yonna ku kintu kyonna ekimuweereddwa okukola. Mukuweereza akolere wamu n'abasajja bo ab'amagezi era n'abo aba mukama wange, Dawudi kitaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnyina wa mu Kika kya Daani, kitaawe mutuuze w'e Tiiro. Mukugu mu kukola ebya zaabu n'ebya ffeeza, eby'ekikomo n'eby'ekyuma, eby'amayinja n'eby'emiti. Asobola okukola engoye eza bbululu, n'eza kakobe n'emmyufu, n'eza kitaani ennungi. Era mukugu mu kuyola okwa buli ngeri, ng'asobola n'okukola omusono gwonna oguba gumuweereddwa. Mmukuweerezza akole nga bali wamu n'abantu bo abakugu, era n'abo abaakoleranga mukama wange, kitaawo Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omukazi ow'oku bawala ba Ddaani, ne kitaawe yali musajja wa Ttuulo, ow'amagezi okukola omulimu ogwa zaabu n'ogwa ffeeza n'ogw'ebikomo n'ogw'ebyuma n'ogw'amayinja n'ogw'emiti n'ogw'engoye ez'effulungu ne kaniki ne bafuta ennungi n'engoye entwakaavu; era n'okwola enjola ez'engeri zonna, n'okugunja engeri yonna egunjibwa: alagirwe ekifo wamu n'abasajja bo ab'amagezi n'abasajja ab'amagezi aba mukama wange Dawudi kitaawo.