2 Chronicles 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naffe tujja kutema emiti mu Lebanoni gyonna gy'onooba weetaaze, tugiseeyeeyeze ku kibaya ku nnyanja, gigobe e Yoppa; ggwe onoogiggya awo ogitwale e Yeruzaalemu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano mukama wange aweereze abaddu be eŋŋaano ne sayiri, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini gwe yasuubiza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno, tuweereze eŋŋaano ne sayiri, amafuta n'omwenge, mukama wange bye wasuubiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano tuweereze eŋŋaano ne bbaale, n'omuzigo, n'omwenge ogw'emizabbibu, bye wasuubiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno, eŋŋaano ne sayiri, amafuta n'omwenge, mukama wange bye yayogerako; atume eri abaddu be: