2 Chronicles 2:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni n'abala abantu abagwira abaali mu Yisirayeli bukya mitwe gibalibwa mu budde bwa kitaawe Dawudi; baawera akasiriivu kamu mu emitwalo ataano mu enkumi ssatu mu lukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunaagiseeyeeyeteza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe oligyambusa e Yerusaalemi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naffe tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunagiseeyeereza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe eyo gyoligiggya okugitwala e Yerusaalemi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja bange bajja kutema emiti gy'oyagala okuva mu nsozi za Lebanooni. Nja kugisengeka ngisibe ng'ekibaya, ngisse ku nnyanja, gisobole okuseeyeeya okutuuka e Yoppa. Eyo nno gy'oligiggya okugitwala e Yerusaalemu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naffe tulitema emiti ku Lebanooni, nga bw'olyagala obungi: era tuligireeti gy'oli nga tugikulula ku nnyanja ne tugituusa e Yopa; naawe oligirinnyisa e Yerusaalemi.