2 Chronicles 2:18 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alonda mu bo emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutemanga amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okulabiriranga abantu abaakolanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alonda kubo abantu emitwalo musanvu (70,000) okuba abeetissi be by'okuzimbisa, n'abalala emitwalo munaana (80,000) okwasanga amayinja ku nsozi, ate enkumi ssatu mu lukaaga (3,600) n'abateekawo okulabiriranga abaakolanga emirimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku bo, abantu emitwalo musanvu n'abateeka ku mulimu gw'okwetikka eby'okuzimbisa, ate emitwalo munaana n'abateeka ku gwa kwasa mayinja mu nsozi, ate enkumi ssatu mu lukaaga n'abawa gwa kubalabirira nga bakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'assaawo obukumi musanvu ku bo okwetikkanga emigugu, n'obukumi munaana abaatemanga ku nsozi n'abalabirizi enkumi ssatu mu lukaaga okukozanga abantu.