2 Chronicles 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiggwa kye njagala okuzimba kikulu, kubanga Katonda waffe mukulu okukira balubaale bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba kaakano nnaatera okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange eyeekaalu, era ngiwonge olw’okwoterezaayo obubaane obw’ebyakaloosa obulungi mu maaso ge, n’okuweerayo emigaati egya buli lunaku, n’olw’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa enkya n’akawungeezi buli ssabbiiti ne ku myezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe, ng’ekiragiro eky’enkalakkalira eri Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano nteekateeka okuzimbira Mukama Katonda wange ennyumba, era n'okugiwonga eri ye, olw'okwoterezayo obubaane obw'eby'akaloosa ebiwoomerevu, n'okuweerayo emigaati egya buli kiseera, n'olw'ebiweebwayo ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ne ku Ssabbiiti ne ku mbaga ez'okuboneka kw'omwezi ne ku mbaga endala ezaateekebwawo Mukama Katonda waffe, nga bwe yalagira Isiraeri okukolanga emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano nteekateeka okuzimbira Mukama Katonda wange Essinzizo ery'okumuweesa ekitiibwa. Essinzizo lino lijja kumuwongerwa, libe ery'okwoterezangamu obubaane obw'akawoowo w'ali, n'okumuweerangamu ebitambiro ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ne ku Sabbaato, ne ku mbaga ez'okuboneka kw'omwezi, ne ku nnaku endala ze tuweerako Mukama Katonda waffe ekitiibwa, nga bwe yalagira Abayisirayeli okukolanga emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, nzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba okugiwonga eri ye, n'okwotereza mu maaso ge obubaane obw'eby'akaloosa ebiwoomerevu, n'olw'emigaati egitaggwaawo, n'olw'ebiweebwayo ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ku ssabbiiti n'emyezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe. Kino kye kiragiro eky'emirembe gyonna eri Isiraeri.