2 Chronicles 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mpeereza omusajja omukugu, amanyi obulungi ebidda ku zaabu, ku ffeeza, ebikomo, n'ekyuma, ne ku ngoye eza kakobe, emmyufu n'eza bbululu, amanyi n'okwola ebifaananyi, ajje akole eno mu Yuda n'e Yeruzaalemu wamu ne baffundi abakugu kitange Dawudi be yaleka ategese.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ani ayinza okumuzimbira eyeekaalu, nga n’eggulu erya waggulu ddala taligyamu? Noolwekyo nze ani okumuzimbira eyeekaalu, okuggyako okumuzimbira ekifo eky’okwoterezangamu obubaane mu maaso ge?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ani ayinza okumuzimbira ennyumba, kubanga n'eggulu lyennyini erya waggulu taligyamu? Nze nno nze ani okumuzimbira ennyumba ey'okwoterezamu obubaane mu maaso ge?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ani ayinza okumuzimbira essinzizo, nga n'eggulu lyennyini eryenkanidde awo obunene taligyamu? Nze ani okuzimba ekifo aw'okwotereza obubaane mu maaso ge?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ani ayinza okumuzimbira ennyumba, kubanga eggulu n'eggulu erya waggulu taligyamu? nze nno nze ani mmuzimbire ennyumba, wabula okwoterezanga obubaane mu maaso ge?