2 Chronicles 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bantegekere emiti mingi, kubanga ekiggwa kye neegomba okuzimba kijja kubeera kinene, nga kya kitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era mpeereza n’emivule, n’emiberosi, n’emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi nti abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abaddu bange banaakolagananga n’ababo
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mpeereza n'emivule n'emiberosi n'emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abasajja bange banaakolera wamu n'ababo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mpeereza emivule n'emiberosi n'emitoogo okuva mu Lebanooni, kubanga mmanyi nti basajja bo bamanyirivu mu kutema emiti eyo mu Lebanooni. Basajja bange banaakolera wamu n'ababo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mpeereza n'emivule n'emiberosi n'emitoogo ng'ogiggya ku Lebanooni: kubanga mmanyi ng'abaddu bo bategeevu okutema emiti ku Lebanooni; era, laba, abaddu bange banaabanga wamu n'abaddu bo,