2 Chronicles 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakozi bo abanaatema emiti nzija kubawa eŋŋano kori emitwalo ebiri, sayiri kori emitwalo ebiri, evviini bati emitwalo ebiri, n'omuzigo gw'oliva bati emitwalo ebiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okunteekerateekera embaawo mu bungi, kubanga eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba egenda kuba nnene era nga yaakitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okunteekerateekera emiti emingi: kubanga ennyumba gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba nnene ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okunteekerateekera emiti mingi, kubanga Essinzizo lye ŋŋenda okuzimba lijja kuba ddene ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okunteekerateekera emiti mingi: kubanga ennyumba gy'eŋŋenda okuzimba eriba nnene kitalo.