2 Chronicles 20:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati baabano wano Abammoni, Abamowabu ne mu bantu b'oku lusozi Seyiri, ensi yaabwe gy'otaaleka Bayisirayeli kulumba nga bava mu Misiri, ne babalaamiriza bubalaamiriza ne batabazikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye kaakano laba, abasajja ba Amoni ne Mowaabu n’ab’oku Lusozi Seyiri, ab’omu kibangirizi kye wagaana Isirayiri okulumba bwe baava mu nsi y’e Misiri, era babeewala ne batagenda kubazikiriza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno tunuulira abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri be wagaana Isiraeri okulumba bwe bali baava mu nsi y'e Misiri, naye ne baabeebalama ne batabazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale tunuulira Abammoni n'Abamowaabu, n'ab'oku Lusozi Seyiri! Bajjajjaffe bwe baava mu nsi y'e Misiri, tewabakkiriza kulumba bantu abo. Baabeebalama ne batabazikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno tunuulira abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri be wagaana Isiraeri okutabaala bwe baava mu nsi y'e Misiri, naye ne bakyama okubavaako ne batabazikiriza;