2 Chronicles 20:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba bwe balaga okusiima nga bajja okutugoba mu butaka bwaffe bwe watuwa ng'obusika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
laba bwe baagala okutusasula nga batugobaganya mu kifo kye watuwa ng’omugabo gwaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, kye batusasula, kwe kujja okutugoba mu nsi gye watuwa okuba obutaka bwaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano kye batusasula, kwe kujja okutugoba mu nsi gye watuwa okuba obutaka bwaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
laba, bwe batusasula, okujja okutugoba mu butaka bwo bw'otuwadde okulya.