2 Chronicles 20:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda, toogubasalire? Anti ffe tulina maanyi genkana wa okusobola okwaŋŋanga eggye lino eddene eritulumbye? Tumaze obutaba na kya kukola, amaaso tugatadde ku ggwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda waffe, toobasalire musango? Kubanga tetulina maanyi ga kulwana na ggye lino eddene eritulumbye. Tetumanyi kya kukola, wabula amaaso gaffe gatunuulidde ggwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Katonda waffe, obaziyize, kubanga ffe tetulina maanyi n'akatono okulwanyisa eggye lino eddene eritulumbye. Tetumanyi kye tunaakola, wabula tutunuulidde ggwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda waffe, obaziyize, kubanga ffe tetulina maanyi n'akatono kulwanyisa ggye ddene lino eritulumbye. Tetumanyi kye tunaakola, wabula tutunuulidde ggwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Katonda waffe, tolibasalira musango? kubanga tetulina maanyi n'akatono eri eggye lino eddene eritutabadde: so tetumanyi bwe tuba tukola; naye amaaso gaffe gakutunuulira ggwe.