2 Chronicles 20:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda yenna wamu n'abaana baabwe ne bakazi baabwe ne bayimirira mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja bonna aba Yuda, wamu ne bakyala baabwe, n’abaana baabwe, n’abaana abasemberayo ddala obuto, ne bayimirira mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja bonna aba Yuda, wamu n'abakazi, n'abaana baabwe, omuli n'abawere, ne bayimirira mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja bonna ab'omu Buyudaaya baali bayimiridde awo ne bakazi baabwe n'abaana baabwe, omuli n'abaana abawere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda yenna ne bayimirira mu maaso ga Mukama nga balina abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe.