2 Chronicles 20:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yakaziyeli mutabani wa Zakariya mutabani wa Banaaya mutabani wa Yeyeli mutabani wa Mattaniya, Omuleevi muzzukulu wa Asafu, bwe yali ng'ayimiridde mu makkati g'ekibiina kyonna, Mwoyo w'Omukama n'amujjako,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya muzzukulu wa Yeyeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi ow’ezzadde lya Asafu ng’ayimiridde wakati mu lukuŋŋaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya, muzzukulu wa Yeyeeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi ow'ekika ky'Asafu eyali wakati mu kibiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mwoyo wa Mukama n'ajja ku Muleevi eyali mu baali bakuŋŋaanidde awo, ayitibwa Yahaziyeeli, mutabani wa Zekariya, Zekariya mutabani wa Benaaya, Benaaya mutabani wa Yayeli, Yeyeri mutabani wa Mattaniya omu ku baana ba Asafu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Benaya mutabani wa Yeyeri mutabani wa Mattaniya Omuleevi ow'oku batabani ba Asafu wakati mu kibiina;