2 Chronicles 20:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Mutegereze, ggwe kabaka Yosafati nammwe mwenna abantu mu Yuda ne Yeruzaalemu. Omukama kino ky'agamba: ‘Muleme kutya oba okutekemuka olw'eggye lino eddene, kubanga olutalo si lwammwe, wabula lwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera nti, “Kabaka Yekosafaati, ne Yuda yenna, n’abatuuze ba Yerusaalemi, kino Mukama ky’abagamba nti, ‘Temutya era temuggwaamu mwoyo olw’eggye eryo eddene, kubanga olutalo si lwammwe, naye lwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Muwulire, mmwe aba Yuda mwenna, nammwe ababeera mu Yerusaalemi, naawe, kabaka Yekosafaati: bw'atyo bw'abagamba Mukama nti, ‘Temutya mmwe so temukeŋŋentererwa olw'eggye lino eddene; kubanga olutalo si lwammwe naye lwa Katonda.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yahaziyeeli n'agamba nti: “Ayi Kabaka Yehosafaati nammwe mwenna abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, muwulire. Mukama abagamba mmwe nti: ‘Temutya, era eggye lino lireme kubaterebula, kubanga olutalo luno si mmwe munaalulwana, wabula Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogera nti Muwulire, mmwe Abayuda mwenna, nammwe ababeera mu Yerusaalemi, naawe, kabaka Yekosafaati: bw'atyo bw'abagamba Mukama nti Temutya mmwe so temukeŋŋentererwa olw'eggye lino eddene; kubanga olutalo si lwammwe naye lwa Katonda.