2 Chronicles 20:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkya mujja kuserengeta mubalumbe; bajja kubeera nga bambuka ku kasozi k'e Zizi. Mujja kubasisinkana awakoma ekiwonvu mu ddungu ly'e Yeruweli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkya muserengete mubasisinkane; laba bajja kwambukira awalinnyirwa e Zizi, era munaabasisinkana ekiwonvu we kikoma mu ddungu lya Yerweri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Enkya muserengete mulwane nabo: laba, bajja kwambukira awalinnyirwa e Zizi, nammwe munabasanga ekiwonvu we kikoma era eddungu ly'e Yerweri we litandikira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkya mugende mubalumbe. Tebaaleme kulinnyalinnyira awambukirwa Zizi. Mujja kubasanga awakoma ekiwonvu, era eddungu ly'e Yerweli we litandikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enkya muserengete mulwane nabo: laba, bambukira awalinnyirwa e Zizi; nammwe mulibasanga ekiwonvu we kisibuka mu maaso g'eddungu Yerweri.