2 Chronicles 20:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si mmwe mujja okulwana; mutaze eggye lyammwe nga muli bagumu, mutunule mulabe Omukama bw'abanunula, ggwe Yuda, ggwe Yeruzaalemu! Temutya, temutekemuka; enkya mugende mubaŋŋange, Omukama ali nammwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tekijja kubeetagisa kulwana lutalo luno. Mubeere mu bifo byammwe, mube bagumu mulabe obuwanguzi Mukama bw’anaabawa mmwe Yuda ne Yerusaalemi. Temutya wadde okuggwaamu omwoyo; enkya mugende mubasisinkane, Mukama anaabeera nammwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tekijja kubeetaagisa kulwana lutalo luno: muyimirire buyimirizi mu bifo byammwe, mulyoke mulabe obuwanguzi Mukama bw'anaabawa mmwe, Yuda ne Yerusaalemi. Temutya era temuterebuka. Enkya mu balumbe, kubanga Mukama ali nammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temujja kwetaaga kulwana lutalo luno. Mwesimbe muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe Mukama Omulokozi ali nammwe ky'akola. Mmwe abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, temutya era temuterebuka. Enkya mubalumbe, Mukama ali nammwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temulyetaaga kulwana mu lutalo luno: mwesimbe muyimirire buyimirizi mulabe obulokozi bwa Mukama obuli nammwe, ggwe Yuda ne Yerusaalemi: temutya so temukeŋŋentererwa: enkya mubatabaale; kubanga Mukama ali nammwe.