2 Chronicles 20:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosafati n'avunnama wansi ku maaso ge ku ttaka, ne Yuda yenna n'ab'e Yeruzaalemu ne bagwa wansi mu maaso g'Omukama ne bamusinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekosafaati n’avuunama amaaso ge ku ttaka, era ne Yuda yenna n’abatuuze bonna ab’e Yerusaalemi ne bavuunama wansi mu maaso ga Mukama ne bamusinza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekosafaati n'avuunama ddala ku ttaka, ne Yuda yenna n'ababeera mu Yerusaalemi ne bavuunama mu maaso ga Mukama, ne bamusinza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehosafaati n'avuunamira ddala ku ttaka, n'ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu ne bavuunama mu maaso ga Mukama, ne bamusinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekosafaati n'avuunama amaaso ge ku ttaka: ne Yuda yenna n'ababeera mu Yerusaalemi ne bavuunama mu maaso ga Mukama, nga basinza Mukama.