2 Chronicles 20:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne bajja batemya ku Yosafati nti: “Olumbiddwa eggye eddene okuva emitala w'ennyanja mu Edomu; kati bali Kazazoni-Tamari, oba Engedi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja abamu ne bagenda ne bategeeza Yekosafaati nti, “Eggye ddene eriva e Busuuli okuva emitala w’Ennyanja ey’Omunnyo, likulumbye, era lituuse mu Kazazonutamali, ye Engedi,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja abamu ne bagenda ne bagamba Yekosafaati nti, “ Eggye ddene eriva emitala w'ennyanja e Busuuli likulumbye, era lituuse e Kazazomutamali, ye Enedi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wajja abantu ne bagamba Yehosafaati nti: “Eggye eddene lizze okukulumba, nga liva mu Edomu, emitala w'ennyanja. Kaakati liri Hazazoni Tamari, (ye Engedi).”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wajja abantu abaamugamba Yekosafaati nti Eggye ddene likutabadde eriva emitala w'ennyanja e Busuuli; era, laba, bali mu Kazazonutamali (ye Engedi).