2 Chronicles 20:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'amaze okwebuuza ku bantu, n'alonda ab'okuyimbira Omukama, bamutendereze olw'okwakaayakana kw'obutuukirivu bwe, nga bwe bakulembeddemu eggye mu byambalo ebitukuvu, nga bayimba nti: “Mugulumize Omukama, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yamala okwebuuza ku bantu, n’alonda abasajja ab’okuyimbira Mukama, n’okumutendereza olw’ekitiibwa ky’obutuukirivu bwe, abakulemberamu eggye, nga boogera nti, “Mwebaze Mukama kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yamala okuteesa n'abantu, n'assaawo abo abanaayimbira Mukama ne batendereza obukulu bwe, nga bambadde ebyambalo ebitukuvu. Bakulemberemu eggye nga bayimba nti, “Mwebaze Mukama; kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okuteesa n'abantu, n'ateekawo ab'okuyimbira Mukama okumutendereza, nga bambadde ebyambalo eby'emikolo emitukuvu, ne bakulemberamu eggye, ne bagenda nga bayimba nti: “Mutendereze Mukama, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yamala okuteesa n'abantu, n'assaawo abo abanaayimbira Mukama ne batendereza obulungi bw'obutukuvu nga bafuluma nga bakulembedde eggye ne boogera nti Mwebaze Mukama; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.