2 Chronicles 20:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baatandika okuyimba, Omukama n'ateega n'akwasa Abammoni, Abamowabu n'abo abaali bavudde ku lusozi Seyiri okulumba Yuda; bonna ne bakubwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe batandika okuyimba n’okutendereza, Mukama n’ataayiza abasajja ba Amoni, n’aba Mowaabu, n’ab’oku Lusozi Seyiri, abaali balumbye Yuda, ne bawangulwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baatandika okuyimba n'okutendereza, Mukama n'ataayiza abasajja ba Amoni n'aba Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri, abaali balumbye Yuda, ne bagugumulwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baatandika okuyimba n'okutendereza, Mukama n'ateekawo abateezi okuteega Abammoni n'Abamowaabu, n'ab'oku Lusozi Seyiri, abaali balumbye Buyudaaya, ne bagugumulwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baatanula okuyimba n'okutendereza, Mukama n’ateekawo abateezi okuteega abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri, abaali batabadde Yuda; ne bakubibwa.