2 Chronicles 20:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja b'omu Ammoni ne Mowabu ne basituka okulwanyisa abaali bavudde ku lusozi Seyiri, babatte babazikirize. Bwe baamala okusanjaga abantu abaali bavudde ku lusozi Seyiri, ne bayamba buli omu okuzikiriza munne.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ba Amoni n’aba Mowaabu ne bagolokokera ku basajja ab’oku Lusozi Seyiri ne babazikiriza, era bwe baamala okubazikiriza, ne bakyukiragana ne battiŋŋana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ba Amoni n'aba Mowaabu baalumba ab'oku lusozi Seyiri, ne babazikiririza ddala. Bwe baamala okubasaanyawo ate ne bakyukiragana ne batingana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Abammoni n'Abamowaabu baalumba ab'oku lusozi Seyiri, ne babatta okubazikiririza ddala. Bwe baamala okusaanyaawo ab'oku Seyiri, olwo bonna ne battiŋŋana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abaana ba Amoni ne Mowaabu baalumba ab'oku lusozi Seyiri, okubatta n'okubazikiririza ddala: awo bwe baamalira ddala ab'oku lusozi Seyiri, buli muntu ne beegatta okuzikiriza munne.