2 Chronicles 20:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda bwe yatuuka w'olengerera eddungu, n'atunula alabe eggye eddene, naye baalaba mirambo myereere egigaŋŋalamye ku ttaka; tewaali yali asumattuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja aba Yuda bwe baatuuka ku munaala ogw’eddungu, ne batunuulira eggye eddene, laba nga bonna mirambo egigudde, nga tewaliwo n’omu eyawonyeewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja ba Yuda bwe baatuuka ku munaala ogw'omu ddungu, ne batunuulira eggye lya balabe, ne balaba nga bonna mirambo egigaŋŋalamye, nga tewali awonyeewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya bwe baatuuka we balengerera mu ddungu, ne batunuulira eggye ly'abalabe, ne balaba nga bonna mirambo egigaŋŋalamye, nga tewali awonyeewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yuda bwe baatuuka ku kigo ekikuumirwako eky'omu ddungu, ne batunuulira eggye, kale, laba, nga mirambo egigudde wansi, so tewaali abaawona.