2 Chronicles 20:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosafati ne basajja be ne bagenda banyage ebintu byabwe; ne basanga ebintu nkumu omwali eby'okulwanyisa, ebyambalo n'ebintu eby'omuwendo. Byali bingi n'okusinga bye baali basobola okutwala; omunyago baagusombera ennaku ssatu olw'obungi bw'ebintu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekosafaati n’abantu be bwe bajja okutwala omunyago, basangawo ebintu bingi n’engoye nnyingi, n’eby’obugagga bingi, okusinga n’ebyo bye baali basobola okwetikka. Baamala ennaku ssatu nga babisomba, olw’obungi bwabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekosafaati n'abantu be bwe bajja okubaggyako omunyago, ne basanga wo ebintu bingi n'engoye nnyingi, n'eby'obugagga bingi, ne bibalema okutwala: ne bamala ennaku ssatu nga babisomba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehosafaati n'abantu be bwe bajja okubaggyako omunyago, ne babasanga n'ebyobugagga bingi, n'ebintu eby'omuwendo ennyo, bye baayambula ku mirambo ne babyetwalira, era ne bibalemerawo. Okumanya byali bingi, ne bamala ennaku ssatu nga babikuŋŋaanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekosafaati n'abantu be bwe baatuuka okubaggyako omunyago, ne basanga mu bo obugagga bungi n'emirambo n'ebintu eby'omuwendo omungi, bye beeyambulira bokka, obungi bwabyo ne bibalema okutwala: ne bamala ennaku ssatu nga banyaga omunyago, bwe gwali mungi bwe gutyo.
Recommended Reading