2 Chronicles 20:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu Beraka ne batendereza Omukama. Ekifo ekyo kyekiva kiyitibwa Ekiwonvu ky'Omukisa, bwe kikyayitibwa n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu ekya Beraka, okutendereza Mukama, kyekyava kituumibwa Ekiwonvu kya Beraka, ne leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu Beraka, ne batendereza Mukama: ekiwonvu ekyo kye kyava kituumibwa erinnya Beraka, ne leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwokuna, ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu kya Beraka, ne batendereza Mukama. Okuva olwo ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa ekiwonvu kya Beraka
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olw'okuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu Beraka; kubanga eyo gye beebaliza Mukama: ekifo ekyo kyekyava kituumibwa erinnya kiwonvu Beraka ne leero.