2 Chronicles 20:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ab'omu Yuda ne mu Yeruzaalemu, nga Yosafati abakulembeddemu, ne bakomawo mu Yeruzaalemu mu ssanyu, kubanga Omukama yali abawadde eky'okujaguza ku balabe baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma, buli musajja wa Yuda n’owa Yerusaalemi, nga bakulemberwamu Yekosafaati, ne baddayo e Yerusaalemi nga basanyuse, kubanga Mukama yali abawadde essanyu olw’okuwangula abalabe baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekosafaati n'akulemberamu aba Yuda n'abe Yerusaalemi, ne baddayo okuddayo e Yerusaalemi nga basanyuse; kubanga Mukama yali awangudde abalabe baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehosafaati n'akulembera ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu, ne baddayo e Yerusaalemu nga basanyuse, kubanga Mukama yali awangudde abalabe baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne baddayo, buli muntu owa Yuda n'ow'e Yerusaalemi, Yekosafaati ng'abakulembedde, okuddayo e Yerusaalemi nga basanyuse; kubanga Mukama abawadde okusanyukira abalabe baabwe.