2 Chronicles 20:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Yosafati bwe yali kabaka wa Yuda. Yali wa myaka amakumi asatu mu etaano we yafuukira kabaka; yafugira emyaka abiri mu etaano mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Azuba, muwala wa Siluki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekosafaati n’afuga Yuda. Yalina emyaka amakumi asatu mu etaano we yafuukira kabaka wa Yuda, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Azuba muwala wa Siruki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekosafaati yafuuka kabaka wa Yuda nga wa myaka asatu mu etaano (35), n'afugira emyaka abiri mu etaano (25) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Azuba, muwala wa Siruki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehosafaati yafuuka kabaka wa Buyudaaya nga wa myaka amakumi asatu mu etaano, n'afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemu. Nnyina yali Azuba, muwala wa Siluhi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekosafaati n'afuga Yuda: yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Azuba muwala wa Siruki.